Engeri ettamiro n’entalo z’abakazi gyebyali bivirideeko ttimu ya Bugerere okuggwa

4 Min Read
Lukyamuzi(ku kkono),Bogere(ku ddyo)

BYA:JUMA ALI N’OMULANGIRA DDEMBE YONAH

Okuva essaza Bugerere weryagoba kikonnya Michael Lukyamuzi Skills ku ky’obutendesi ne bamusikiza sitooko empya Steven Bogere,ttimu kati eri ku mutindo gwa waggulu nnyo kubanga emipiira esatu gyeyakasamba,gyona egiwangudde nga tetebeddwamu ggoolo yona. 

LUKYAMUZI AGOBWA ATYA? 

Ensonda ez’esigika zatutegezeza nga Andrew Ssekito,Maneja wa Bugerere omwezi oguwede weyasiba omutima nayiwa abakulira ttimu bonna okuva ku mutendesi Lukyamuzi n’abammyuka be okwali Saddik Ssempigi(omummyuka asooka) ne Ikoba Afan(omummyuka ow’okubiri). 

Ono okulya obuwuka bwati kyaddirira omutindo gwa ttimu okusereba ekigenze ewala mu kitundu ekyasooka eky’empaka z’emipiira za massaza. 

Ttimu mu kitundu kino yali ezannye empiira etaano naye nga ewangudeeko omupiira gumu, amaliri yalina 2 atenga ewutuddwa bubi nnyo mu mipiira 2 ekitegeza nti yalina obunero 5 ku 15 bwebaali beetaga.

LUKYAMUZI NE SSEMPIGI TTIMU BAALI BAGITENDEKERA KU WHATSAPP

Ensonda era zayongede ne zitutegeza nti Lukyamuzi ne Ssempigi omulimu gw’okutendeka ttimu baali bagukolera  ku whatapp.

Nti kunaku z’okutendeeka ttimu baali tebagya kubanga Lukyamuzi ku Bugerere yali atendekerako ne Black Powers gyeyalina okujja mu Big League agitwale mu Supper League ate Ssempigi ku Bugerere yali atendekerako ne Kigezi Home Boys naye gyeyalina okugya mu Big League agitwale mu Supper League ekitegeza nti omulimu gw’okutendeeka gwali gusigalide eri omummyuka w’omutendesi o’wokusatu Ikoba. 

Ikoba engeri gyeyali abeera nga ku guluwawundi ne ttimu, ku lunaku lwenasamba yeyalondanga abazannyi kyoka nga ebula essawa mbale ttimu egende mu kisaawe,Lukyamuzi ne Ssempigi nga bakyusa “line up” ku whatapp ekintu ekyakyankalanya nga ennyo ezannya y’omupiira. 

Ejjogo lino Maneja Ssekito lyeyali akooye era mu busungu kyeyava asalawo abatendesi bonna abagoobe. 

ENGERI ETTAMIRO N’ENTALO Z’ABAKAZI GYEBYALI BISANYIZAWO TTIMU

Ensonda zaffe era zayongede n’ezitutegeza nga ettamiro n’entaro za bakazi webyali biyuzayuzizamu abazannyi mu nkambi. 

Nga webagamba nti namuswa watabamu enswa zifa naganga,obutabawo bwaba kooki okulambika abazannyi, bwabavirangako okuduuka mu nkambi ekiro ne bagenda mubirabo byomwenge e Kayunga ne batamirukuka kwo n’okulwanira abakazi. 

Enjawukana z’abakazi zino abazannyi bazileetanga ne mu kisaawe ekyavirako ttimu okuwutulwanga entakeera.

MUGERERE BAYOMBA NE MANEJA

Wabula Maneja Ssekito weyali aggogola ttimu, wabalukawo okusika omuguwa okwamanyi wakati we ne Mugerere Ssemugoma Samuel. 

Mugerere Ssemugoma yali awakanya ekya Ikoba okugobebwa awamu ne bakamabe nga agamba nti Ssempigi ne Lukyamuzi webasulirangawo ttimu,Ikoba yayiwangawo omubiri wabula kino Maneja Ssekito yakiwakanya nga agamba ekyenyanja kivunda kiva ku mutwe nabwekityo ttimu okusobola okugiggogola obulungi abakulu bonna yalina okubagooba. 

Engeri Mugerere gyeyali akayanira ku malusu,omugagga Ssekito yafundikira amusinziza ensumika.

NSONGA KI EYAWEESA BOGERE OMULIMU 

Bogere alina obumanyirivu mu mipiira gya Masaza kubanga ye mutendesi eyawanguza Buddu ebikopo kyayo eky’okubiri eky’ebyafaayo.

Bogere okumanya mulungi mukuzimba ttimu, mu banga etono lyeyakagitendekera,emipiira  esatu gyeyakasamba gyona agiwangude era kati mu kibinja Muganzirwa mweli ekwata kya kubiri n’obubonero 14.

Ekibinja kino kikulembeddwa Butambala  n’obubonero 15. Mu kiffo eky’okusatu mulimu Mawogoola ne Kooki  n’obubonero 12.Bano badirirwa Singo n’obubonero 9 ate yo Kabuula n’ekwebeera n’obubonero 2.

Bogere ttimu agitusiza ku buwanguzi buno kubanga yaddibya akakodyo ka 3 backers akabadde kasobozesa omulabe okubateeba amangu amaggolo nga ebisenge sibinywevu nakasikiza aka 4 backers. 

Ku mutindo Bugerere gweliko kati yetaaga kugooba empiira 2 gyoka okutuuka ku luzannya lwa Quater final

Bogere abawagizi bamulinamu nnyo esuubi kubanga buli mupiira ttimu gwezannya, eguzannya nga fayino

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *